Akatale k’e Kibuye, akamu ku obwo Lukwago bw’ayagala okuddiza Mmengo.
LOODI meeya wa Kampala, Erias Lukwago awandiikidde katikkiro wa Buganda J.B Walusimbi n’amuwa olukalala lw’ebintu bya Gavumenti ya wakati ebitudde ku ttaka lya Mmengo n’agamba nti ayagala kubimukwasa bidde mu mikono gye .
Yategeezezza nti Gavumenti emaze emyaka mingi ng’ekozesa ebintu bino awatali kusasula nnannyini ttaka (Mmengo) n’agamba nti ye ng’omusajja Omuganda agenda kubikwasa Katikkiro obutasukka mwaka guno.
Loodi meeya mu bintu bye yatadde ku lukalala mulimu obutale, amasomero, amayumba agapangisibwa, amalwaliro n’ebitebe by’amagombolola.
OBUTALE
Aka Wangegeya akazimbibwa kati , Nakulabye ,Bakuli, Kibuye ne Mengo nga bwonna KCCA yabweddiza mu 1969 era ebbanga lyonna Gavumenti (KCCA) ebadde ebukozesa nga tesasula Mmengo wadde ennusu.
EBITEBE BY’AMAGOMBOLOLA
Ggombolola ya Makindye ne Kawempe. Bino bitudde ku ttaka lya Kabaka kyokka Mmengo ebadde tesasulwa.
AMAYUMBA
Estate za Kisingiri e Mmengo nga zino agamba ziri ku Block 4 ne Poloti 325, 326,327,328,348. Zino zipangisibwa abaserikale ba UPDF ekiseera kino kyokka tewali wadde ennusu Gavumenti gy’esasula Mmengo .
Yagambye nti zino tewali ndagaano yonna gy’agenda kunoonya nga waakuzizzaayo bulambalamba nga tateesezza.
AMALWALIRO
Ku malwaliro, loodi meeya Erias Lukwago yeewunyizza nnyo engeri Gavumenti gy’etasobola wadde okusaba liizi ku ttaka lya Mmengo esobole okukkirizibwa. Yagambye nti agenda kuzzaayo amalwaliro okuli Kitebi, Kawaala, Kisenyi ne Kyamula .
Yagambye nti Gavumenti bw’eba eyagala esabe liizi mu butongole ereme kulaga ng’ettaka eryayo.
AMASOMERO
Amasomero okuli Nabagereka pulayimale mu Kisenyi, Katwe pulayimale, Namungoona- Kigobe, Kitebi pulayimale ne Kitebi Secondary, yagambye nti ettaka kwe gali lya Mmengo kyokka Gavumenti egavunaanyizibwako tesasula busuulu.
Lukwago yasabye Katikkiro yeetegereze bulungi olukalala lw’ebintu by’amuwadde okukakasa oba byonna abitaddeko n’asuubiza okwongerako ebirekeddwa ebbali.
“Ng’enda kuyita olukiiko ku ntandikwa ya September tusalewo lwe tunaakwasa Katikkiro ebintu bino kubanga tetugenda kubiteesaako, “Lukwago bwe yagambye. Disitulikiti ezitali zimu nga Mukono ne Kiboga zo zazzaayo ebintu bya Mmengo kyokka nazo zigamba nti zikyalina okusoomoozebwa kunene.
Okusoommoozebwa okumwolekedde
OWA KIBOGA ISRAEL IGA EYAZZAAYO AYOGEDDE.
Loodi meeya alina okusoomoozebwa kunene kubanga Kampala obutafugibwa tteeka nga lya gavumenti ez’ebitundu, gavumenti etunuulira nnyo buli kintu mu Kampala ate ng’ ebintu bino tebirina kikulu kya nnyo ku kuzzaayo.
Ffe e Kiboga twabizzaayo dda kyokka tetwafuna kulung’amizibwa bulungi ku ngeri gye tubizzaayo era tukyalina okusoomoozebwa.
Ebintu byonna Mmengo y’eteekeddwa okuyamba ku loodi meeya Lukwago nga tannaba kubibakwasa. Mmengo eteekwa okuba ng’emanyi bulungi ebintu byayo era nga byonna biriko ebiwandiiko ebisobola okuyamba Lukwago.
Nze we nnayingirira mu ofi isi ya ssentebe wa disitulikiti e Kiboga, nasanga tewali wadde fayiro yonna eyogera ku bintu bye twazzaayo era mu kiseera kino tukyagezaako okugigatta awamu nga tuyambibwako Mmengo kubanga kati tulina ekizibu ku Ggombolola y’e Bukomero nga waliwo okutunda ettaka kungi mu nkola eteri nnambulukufu.
Lukwago ateekwa okuba ng’akolera wamu ne Mmengo obutakaluubirizibwa n’okumanya ebintu byennyini by’azzaayo era nga biriko fayiro. Ku ludda lwa Gavumenti nayo kyetaaga kikkiriziganyizibweko waleme kubeerawo kusika muguwa.
Bakansala ku lukiiko lwa Lukwago bawagidde entegeka eno ne bagamba nti balinda lukiiko lw’agenda okuyita bagiteeseeko.
Kansala Sulaiman Kidandala Sserwadda, Joseph Mujjuzi, Allan Ssewanyana, Haawa Namugenyi, Henry Lukwasa, n’abalala baawagidde loodi meeya ne bagamba nti balinda lukiiko lwokka bamuwagire.
Omwogezi wa KCCA atangaazizza
OMWOGEZI wa KCCA, Peter Kauju yagambye nti bo ng’abakozi ba gavumenti abakulirwa dayirekita wa Kampala, Jennifer Musisi Ssemakula tebalina kye bamanyi ku nsonga eyo.
“Tewali kiragiro kyonna kuva mu gavumenti wadde palamenti ku nsonga eno . Ffe tukolera ku biragiro bya gavumenti . Gavumenti ky’egenda okutugamba ku bintu ebyo kye tugenda okukola naye ekiseera kino ebyo bya Loodi Meeya ffe tetubimanyiiko” Kauju bwe yagambye.
Kauju yagasseeko nti ebintu ebyo bwe biba nga byakuzzibwayo nga Lukwago bw’agamba, takikola yekka .
Gavumenti eya wakati y’erina obuyinza obusalawo ku bintu bino nga waliwo amateeka agagobererwa naye kati bo tebalina kye bamanyi.